Bya Ali Mivule
KCCA FC baawangudde ebikopo 2 mu sizoni emu omulundi gwaabwe ogusookedde ddala.
Oluvanyuma lw’okuwangula liigi y’eggwanga, batabani ba Mike Mutebi baawangudde ne Uganda Cup oluvanyuma lw’okukuba Paidha Black Angels 2-0 mu Arua
Muyizi tasubwa wa Uganda Cranes Geofrey Sserunkuma yeyasoose okuteeba mu ddakiika 10 mu kitundu ekisooka ate Derrick Nsibambi n’afuna eyokubiri.
Mu mupiira gwegumu omuwuubi w’akatambaala Samuel Kayondo yawumudde .
Badiifiri banne baamuwuubidde obutambaala okumusiibula mu kitiibwa