Skip to content Skip to footer

Omuyizi akubiddwa amasanyalaze negamutta

Bya Shamim Nateebwa

Omwana Emmy Jakony owemyaka 20, omuyizi ku City Side College e Kyebando akubiddwa amasannyalaze agamuttiddewo bwabadde ava okunaaba ng’ayanika engoye ku waya.

Jakony abadde asula ne mukulu we Jacob Ayweka nga bapangisa ku nyumba za Ssaalongo Mponye, e Kyebando Kisalosalo.

Kigambibwa nti enyumba zino aba Umeme bamaze ebbanga nga baaziggyako amasannyalaze oluvannyuma lw’obutasasula.

David Zzimbe omukulu w’essomero lya City Side College ategeezezza nti omugenzi abadde mugezi era babadde bamusubira okukola obulungi.

Omulambo poliisi eggulesse  e Mulago okwongera okugwekebejjebwa.

Leave a comment

0.0/5