Bya Ivan Ssenabulya, Poliisi mu disitulikiti y’e Rukiga ebakanye n’okunonyereza ku kyandiba nga kayasse omukyala ategerekese nga Ninsiima Kellen, eyasangibwa ku mabali gekubo .
Omugenzi abadde mutuuze w’e Ibasyo mu tawuni kanso y’e Muhanga era nga abatuuze bagamba nti yakoma okulabwako ku lunaku lwe Sunday ku bbaala emu.
Okusinzira ku mwogezi wa poliisi mu kitundu kye Kigezi Eli Matte, Ninsiima yava ku bbaala ku ssaawa nga mukaaga ezekiro wabula waliwo abasajja abagamba nti bamulabako ngatudde ku mabali gekubo
Poliisi egamba okunonyereza kunsonga eno kutandise.