Bya Prossy Kisakye, Abasuubuzi b’omu Kampala abakolera ku kizimbe kya skyline shopping arcade mu kibuga wakati bekalakasizza olw’okubasibira ebizimbe byabwe okuviira ddala mu ssabiiti ewedde ekitongole ekiwooza ky’omusolo ki Uganda Revenue Authority,oluvanyuma lw’abannanyibi bizimbe okulemererwa okusasula omusolo.
Bano nga bakulembedwamu Ssentebbe w’ekibiina ekibagatta ki Kampala Arcade’s Traders Association Geoffrey Katongole bategeezezza nga ekitongole ekiwoza omusolo gw’eggwanga bwekyagala amaduuka gaabwe awatali kubawa nsonga.
Bano ababadde tebasalikako musale nga bakunganidde ku kizimbe ekyagalwa bategeezezza nga nnanyini kizimbe bwatakyakwata amasimu gaabwe okusobola okubanyonyola ekintu ekibavirideko okwegugunga.
Wabula oluvanyuma lw’akaseera mpaawo kaaga poliisi ya park enkadde ebiyingidemu era okukakana nga eriiko bekutte abateberezebwa okuba nga be babadde bakulembeddemu okwekalakaasa kuno.