Bya Kyeyune Moses, Omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga lino Rebecca Kadaga avumiridde minisitule ye by’obulambuzi okulemererwa okussa ensimbi mu bannalulunji abali mu lw’okaano lw’ensi yonna ate ne basooka ku kisaawe okubaniriza nga bawangudde.
Kadaga olw’aleero abadde asisinkanye ekibinja kya bannalulunji b’ekitongole ky’eby’obulambuzi nga basaba obuyambi okusoboola okwetaba mu mpaka z’ensi yonna ezisuubirwa okubaawo mu mwezi ogujja mu ggwanga lya Malaysia.
Nnalulunji w’ekitongole ky’eby’obulambuzi, Fiona Kyeru, mu kiseera kino anonya nsimbi za ticket y’enyonyi kwossa ne bikozesebwa okusobola okwetaba mu mpaka zino.
Sipiika avumiridde ekikolwa kya ba minisita okwekubisanga ebifananyi n’abawanguzi nga mukubayambako okusobola okuvuganya tebabawo kya gambye nti kyabuswavu.