Bya Shamim Nateebwa
Poliisi mu bitundu bye Ntebe eriko omugoba wa Boda boda atayatukiriziddwa manya olw’ebyokwerinda gwegalidde ku misango gy’okusobya ku mwana owasiniya eyokutaano n’oluvanyuma natibwa.
Okusinziira kwakulira ba mbega ba poliisi e Ntebe Zakaliya Mbabazi omugenzi y’asembye okulabikako nga alinnye pikipiki y’omusajja ono kale nga yandiba nga amanyi ku ttemu lino.
Norah Wanyana myaka 18 yatiddwa sabiiti ewedde bweyasangidwa nga asobezeddwako wabula nga bamufumisse nekiti mu bitundu bye ebyenkyama ono abadde asomera mu Air Force SS e Ntebe ng’abeera mu Central Zooni e Nkumba.
Maama womugenzi, Florence Nankya Masembe agamba nti yakanze kulinda muwala we eyagenze okugula emmere nga tamulaba kwe kusalawo okugenda ku poliisi wabula kyamukubye enkyukwe okumukubiira nga omwana we bwatidwa.
Mu kitundu kino webatidde omugenzi baakattirawo abawala basatu nga basooka kubasobyako, .