Abantu basatu beebafiiriddewo ekimotoka kilukululana bwekiremedde omugoba waakyo nekisabaala abantu
Abalala abalala kkumi n’omu batwaliddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka
Akulira poliisi ye kawempe Siraje Bakaleke agamba nti ekimotoka number UAK 801J kireemeredde omugoba waakyo nekiserengeta okuva ku luguudo lwa Sir APollo Kaggwa okukkakkana nga kisabadde emotoka ezisimbye ku luguudo.
Ekimotoka kino kisinze kusabaala motoka ezibadde mu mugotteko gw’ebidduka ,
Dereeva wa kiloole kino amaze okukwatibwa okuyambako mu kunonyereza.