
Loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago asuuubizza okukolera bannakampala mu kisanja kye kino ekijja ekitaali mu kisanja ekiwedde.
Lukwago yali tannabugumya na ofiisi ba kansala nebamugyamu obwesige nga bagamba nti emirimu gyali gimulemye nga akozesa bubi ofiisi ye.
Kati amangu ddala nga yakalangirirwa, Lukwago y’aweza okusasula bannakampala obudde obwayononeka wabula nga era ssiwakunyigirwa mu ttooke okuva eri yenna ayagala okutuula ku buyinza bwe nga loodi meeya.