
Eyakwatidde ekibiina kya FDC bendera ku bwa meeya we Masaka mwenyamivu olw’abantu abatono abetabye mu kulonda.
Godfrey Kayemba Afayo nga era ye meeya wa Masaka mweralikirivu nti eno yendiba entandikwa ya bannayuganda okuviira ddala ku by’okulonda.
Kayemba agamba kibi nti abalonzi bebalamye n’okulonda kw’abakulembeze baabwe abaawansi sso nga bebabali okumpi nga babatuusako empereza amangu.
Olwokaano lw’abaddemu abantu 4 nga kwabaddeko munna NRM George William Kalumba,eyesimbyewo ku lulwe Mariam Tusiime, munna DP Peter Marvin Makapu, ne meeya aliko Kayemba Afayo owa FDC.