Skip to content Skip to footer

Famile ya mukyala wa SK Mbuga baddukidde mu kooti

Bya Ruth Anderah

Family ya Angella Vivienne Chebet mukyala womusubuzi Sulaiman Kabangala amanyiddwa nga SK Mbuga, baddukidde mu kooti enkulu mu Kampala, nga bagala ekakake ssbapoliisi we gwanga ne ssawaabi wa gavumenti, baleete omukyala ono mu kooti.

Bano bayise mu munamateeka waabwe Wamimbi Advocates and Solicitors, nga bgamba nti okuva Chebet lweyakwatibwa nga February 14th 2019 nebamuggalira ku poliisi ye Katwe, ebbanga lyayitako erilambikiddwa mu mateeka okutwala omuntu mu kooti.

Kati bagala ayimbulwe oba bamautwale mu kooti avunanibwe.

Kati abavunanwa abalala kuli ssbawoererza wa gavumenti, akaulira ekitongole kyaba mbega, Grace Akullo nabasirikale abalala 5.

Omukwate wetwogerera nga kati akaumibwa ku poliisi ya Kira Road, nga kigwmabibwa nti yetagibwa mu gwanga lya Sweden ku misango gyobufere.

Leave a comment

0.0/5