Skip to content Skip to footer

Dean Lubowa Saava avunaniddwa n’ebamusindika ku alimanda

Bya Ruth Anderah

Munnamawulire, Dean Lubowa Saava avunaniddwa nebamuzaayo ku alimanda mu kkomera e Kitalya olwokuvumira ku yintaneti nokukozesa obubi ebyuma bi kalimagezi.

Lubowa asimbiddwa mu maaso gomulamuzi we’daala erisooka mu kooti ya Buganda Road Marion Mangeni amusomedde emisango wabula nagyegaana.

Oludda oluwaabi lutegezezza kooti nga Lubowa emisango bweyajizza wakati wa March ne April 2021, mu Kampal.

Ono kigambibwa nti yakozesa emitimbagano nebyuma bi kalimagezi ngayita ku YouTube ne Facebook okutatana erinnya lya Capt. John K. Kassami nokumutisatiisa.

Kooti era ekitegeddeko nti Lubowa nabalala abakyayigibwa, era balumba omuyimbi Iryn Namubiru nti asadaaka abantu ne Edirisa Musuza amanyiddwa nga Eddy Kenzo nti balina obuseegu bwebasasanya mu baana.

Kati Lubowa bamusindise ku alaimanda, okutukira ddala nga 19 May 2021 lwanakomezebwawo okuwulira okusaba kwe okwokweyimirirwa.

Leave a comment

0.0/5