Bya Gertrude Mutyaba
Poliisi mu district ye Rakai eremesezza olukungaana olwabadde lutegekeddwa obwakabaka bwa Buganda, olubadde lugenderedde okukunga abakyala okwetaba mu nteekateeka z’okukyaza maama wobwakabaka Nabagereka Sylvia Naginda.
Naabagereka asuubirwa okukyalako mu ssaza lye Buddu ku mukolo ogw’abakyala ba Buganda nga 23 March omwezi guno.
Wabula poliisi yasazeeko ettendekero ly’ebyobulimi
erya District Agricultural Techinical Centre mu gombolola ye Lwanda, e Rakai nga naabateesiteesi balagaiddwa okuva amu kifo ekyo.
Akulira abateesiteesi b’okukyala kwa Naabagereka mu district ye Rakai Milly Nasssolo, agambye abadde amanyi nti enteesaganya zaggwa dda wakati wa Buganda n’obwaKamuswaga.
Kinajjukirwa gyebuvuddeko, poliisi era yagezaako okulemesa
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga okugenda okulambula abalimi e Kooki nga kigambibwa nti yali tafunye lukusa okuva ewa Kamuswaga.