
Mu ggwanga lya Japan abaayo bali mu kujjukira nga bwegiweze emyaka 70 bukyanga lutalo lwa Okinawa luggwa omwafiira emitwalo n’emitwalo gy’abantu.
Enkumi n’enkumi z’abakungubazai bakunganidde ku kijjukizo mu kibuga kye Itoman nga wano abasinga webattibwa.
Katikiro w’eggwanga lino Shinzo Abe naye talutumidde mwana.
Abajaasi b’eggwanga lya Japan abali eyo mu 80.000 bafiira mu lutalo luno n’abatuuze ba Okinawa abasoba mu mitwalo 10.
Mu lutalo luno era abajaasi b’eggwanga lya Amerika abasoba mu mutwalo battibwa.