
Abalimi ba taaba okuva Bugangaizi mu disitulikiti ye Kibale bakwanze omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga ekiwandiiko nga bemulugunya ku kulwawo okusasulwa.
Abalimi bano wansi w’ekibiina kyabwe ekya Kakumiro farmers Association balumiriza kampuni ya continental tobacco Uganda Ltd okubakandaliriza okubasasula nga bajiwadde taaba waabwe nga tebafunanga yadde ennusu okuva mu mwezi gwa August omwaka oguwedde.
Nga bawaayo ekiwandiiko kino, omu ku bakulembeddemu abalimi bano Barnabas Nsamba agamba okulwawo okubasasula tekirinyiridde dembe lyabwe lyabuntu kyokka wabula nga kati nabo amabanja gabali mu bulago n’ebizibu ebirala.
Bano kati baagala basasulwe obuwumbi bwabwe 5 nga bayambibwako palamenti.
Nga abanukula, sipiika Kadaga awabudde akakiiko ka palamenti ak’ebyobulimi okuyita abakulira kampuni eno eyogerwako bababuuze lwaki tebasasula balimi bano nga bwebetegeka okugenda mu kkooti.