Bya Samuel Ssebuliba.
Parliament olunaku olwaleero eganda kuddamu okutuula oluvanyuma lw’okumala ebanga lya sabiiti 2 nga ewumudemu okuva omwaka oguwedde.
Kinajukirwa nti bweyali aggalawo palamenti eno omwaka oguwedde, sipiika Rebeca Kadaga yagamba nti palamenti yaasobola okukola emirimo gyabwe obulungi, era nga baayisa amateeka 11 okuva kwago omusanvu gebaali basuubira.
Kati bano leero ku saawa munaana lwebadamu okutuula, era nga bagenda kutandikira ku kyakutematema mu budget ye gwanga eyomwaka 2019/2020 bwegenda okutambula, nga kwogase nokukola ku nsonga endala.