Bya Damali Mukhaye.
Ekitongole ekikola ku by’ebibuuzo ekya UNEB kitegeezeza nga bwekigenda okufulumye ebyavudde mu bibuuzi bya P.7 abaatula omwaka oguwedde, nga bino bisubirwa sabiiti ejja.
Twogedeko naayogerera ekitogole kino omukyala Leticia Naigaga naagamba nti entekateeka ziwedde okufulumya ebibuzo bino sabiiti ejja, wabula nga olunaku lwenyini terunakakasibwa
Omuwandiisi wa UNEB Daniel Odongo agamba nti bagenda kusooka nakutegeeza minisita w’ebyenjigiriza ebyavudde mu bibuuzo, n’oluvanyuma balonde olunaku kwebagenda okulangirira ebyavudde mu bibuuzo bino eri egwanga lyonna