Skip to content Skip to footer

Bagyenda bamukunyizza ku byokubba ebiwandiiko

Bya Kyeyune Moses

Akakiiko ka palament akalondoola emirimu mu bitongole bya gavumenti aka COSASE katabukidde eyali akulira eby’okulondola banka ez’ebyobusubuzi Justine Bagyenda ngono babade baagala anyonyole gyeyajja obuyinza obukukusa ebiwandiiko bya banka nabitwala ebweru wa banka eno.

Akakiiko mu kunonyererza kwekaliko ku banka ye gwanga enkulu, kagamba nti kalina obujulizi bulaga nti ono ngakozesa abakuumi be nomudereva yafulumya ebikutiya 2 eby’ebiwandiiko okuva mu banka eno nebabitwala mu kifo awatanamanyika nakaakano.

Bagyenda mu kwewozaako agambye nti bano byebogera naye abiwuliridde wano mu kakiiko, kubaganga ye mu kufuluma yagenda n’ampapula ze ezirimu ebyama bye ngomuntu tebyali bya banka.

Wabula bano bamutabukidde nebamubuuza lwaki teyakeberwa ngafuluma, nabagamba nti bino byaliwo mu biseera byadda, nga tayinza kujukirwa oba yakeberwa oba nedda.

Wano ssentebe wakakiiko Abdul Katuntu wasinzidde nagamba  ensonga zino zaakuddamu olunaku lw’enkya nga bamaze okwetegereze ebyakwatibwa mu Camera.

Leave a comment

0.0/5