Skip to content Skip to footer

Bigirwa bamuyimbudde awatali kakwakulizo

Bya Ruth Anderah

Kooti ento ku LDC kdaaki eyimbudde munna DP – era munna People power Moses Bigirwa awatali wadda akwakwakulozi oluvanyuma lwakabanga ngali mu kkomera.

Ekiragiro kino kikoleddwa omulamuzi wa kooti eno Roselyn Nsenge bwakizudde nti etteeka elyokuwa amawulire amakyamu terikyakola mu Uganda kyokanga ono mwabadde avunanirwa.

Wabula kino munamateeka wa gavumenti Roselyn Kipora kino akisimbidde ekuuli nagamba nti ayagala akadde agende yeebuze ku mukama we ku nsonga eno.

Bbo banamateeka ba Bigirwa okuli Samuel Muyizi ne Asuman Basalirwa ne Paul Kakande bino babiwakanyizza nga bagamba nti omusango gugwana kugoba oba okutwalibwa mu kooti ya ssemateeka.

Kati omulamuzi asazeewo nti nga January 28th 2019 lwagenda okulamula ku nsonga eno.

Ono oludda oluwaabi lugamba nti yasasanya amwulire agbuimba bweyategeeza nti gavumenti erina olukwe okutta omubaka Robert Kyagulanyi, amanyiddwa nga Bobi Wine.

Leave a comment

0.0/5