Skip to content Skip to footer

Stella Nyanzi agamba yavaamu olubuto

Bya Ruth Anderah

Eyali omunonyererza ku tendekero lye Makerere Dr. Stellah Nyanzi awunikirzza kooti bwategezezza nti yavaamu olubuto, mu kkomera e Luzira ku Lowkutaano nga January 4th olwekirwadde kya puleesa ekimutawaanya.

Dr.Nyanzi bino abigambye omulamuzi Lydia Mugambe mu kuwlira omusango gwe gweyawabira Makerere, olwobutamuzza ku mulimu.

Nyanzi mu kooti alabiddwako ngomutwe tekuli nviri, ngamabye nti abadde mu mbeera mbi mu ddwaliro lye kkomera ngabadde tasobola na kulaba munamateeka we Isaac Ssemakadde.

Nyanzi abadde ku alimanda e Luzira okuviira ddala mu Novemba ku misango gokuvuma nokunyiiza omukulembeze w egwanga ne nnyina omugenzi Esteri Kokundeka.

Kati omusango gwongezeddwayo okutukira ddala nga February 19th lwegunatandika okuwlirwa.

 

Leave a comment

0.0/5