Skip to content Skip to footer

Gavumenti esabiddwa okwongera ku ssente z’abakadde

mukaddeGavumenti esabiddwa okwongera amaanyi mu nsawo y’abakadde okwongera okuwagira abakadde bano okwetolola eggwanga lyonna.

Enteekateeka eno yatandikibwawo emyaka 6 egiyise mu disitulikiti 15 okuli Kyenjojo, Kyegegwa, Zombo , Nebbi n’endala okusinziira ku kakiiko ka palamenti akalwanirira abantu nga abakadde.

Ssentebe w’akakiiko kano era omubaka omukyala owe Kyegegwa Flavia Kabahenda agamba ensimbi ntono ezitekebwa mu nsawo eno kale nga zetaaga okwongerwako.

Omubaka ono era ayagala wateekebwewo etteeka erinalungamya engaba y’ensimbi zino zigase abo bokka abalina okuziganyulwamu.

Mu nteekateeka eno, buli mukadde mu disitulikiti ezalondebwa afuna 25000 buli mwezi.

Leave a comment

0.0/5