E Bugiri omukazi yetuze oluvanyuma lw’okwekebeza n’asangibwa ne siriimu.
Margret Nakisuyi omutuuze ku kyalo Mayuge West mu gombolola ye Budaya y’asangiddwa nga yeyimbyemu ogwakabugu omulambo gwe nga glengejjera ku muti.
Aduumira poliisi ye Bugiri Edrisa Kyeyune agamba bakyanonyereza kun fa y’omukyala ono yadde nga baliraanwa bagamba amaze ennaku nga atolotooma oluvanyuma lw’okukizuula nti siriimu yamusenkenya dda.