Minisita omubeezi ow’ebyamazzi Ronald Kibuule alabudde ku kutematema bu poloti ku ttaka ly’okulimirako.
Nga ayogerera mu lukungaana lw’ebyobulimi olwennaku 5 wali e Mukono, Minisita Kibuule agamba kino kizibu kyamanyi ekikosa obulimi obuli ku mulembe omuva ensimbi.
Agamba singa abalimi balemera ku nkola eno kyakulemesa Uganda okutuuka mu lusse lw’amawanga agali yadde yaddeko