Omuntu omu y’aweereddwa ekitanda mu ddwaliro lya Kyegegwa health centre IV oluvanyuma lw’abatuuze okulwanagana ne poliisi nga era abalala 15 batemeza mabega wamitayimbwa lwakukuma muliro mu bantu.
Atwala poliisi ye kyegeggwa Mbusa Kiyonga, agamba bano baakwatiddwa nga batabangula emirembe mu gombolola Rwentuha .
Akavuyo konna kaavudde ku nkaayana z’ettaka nga eno gavumenti eriko bannayuganda abasoba mu 5000 abaagobwa mu ggwanga lya Tanzania beyasenza ku ttaka ly’abatuuze.
Ku ttaka lino era kuliko abanonyi b’obubudamu abaagobwa ku ttaka ly’ebibira mu disitulikiti ye Kyenjojo ne Kyegegwa.
opmwogezi wa poliisi mu bitundu bye Rwenzori Lydia Tumushabe agamba 15 bano baakwatiddwa lwakukunga banaanwe kuleetawo kavuyo.