Bya James Kabengwa
Gavumenti eyanukudde ku kukubaganya ebirowoozo okubadde mu palamenti ya Bungereza, ku domocrasiya mu Uganda.
Omubaka Dr. Pual Williams akawungeezi akayise ayanjizza ekiteeso, eri palamenti ye gwanga lino natotola enegeri gavumenti gyerinyiriramu eddembe lyobuntu, okutulgunya abajivuganya, nenguzi nebirala atenga yeyambisa obuwagizi Bungereza bwebawa.
Ono agambye nti waliwo obqwetaavu Uganda nga memba wansi womukago gwa Common wealth, okwetereza nokusaawo enfuga eyanamaddala.
Pual Williama agambye nti ebikolebwa byandizaayo Uganda emabage gyeyava emyaka 30 emabega.
Wabula mu byonna ebibadde mu lutuula luno, minister owensonga ze bweru we gwanga Henry Okello Oryem agambye nti Uganda tejja kwetondera Bunegereza.
Ategezeza nga Uganda bwerina amateeka nebitongole ebikola ennyo okunyweza enkola eya democrasiya.
Ku bigambibwa okutulugunya ababaka ba palamenti, agambye nti ensonga ziri mu kooti.
Mungeri yeemu omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo aganbye nti ababaka abetabye mu lutuula lwa Bungereza eggulo, balabika tebalina byakukola.