Bya Benjamin jumbe.
Akakiiko akakola ku by’okulonda kategeezeza nga bwekyetegereza ebiwandiiko by’ekibiina ekya Gen Mugisha Muntu kyayagala okugulawo wansi wa New Formation.
Kinajukirwa nti omwaka oguwedde nga gugwako, Gen Muntu yatandika ku kaweefube ow’okukola ekibiina ekikye , oluvanyuma lw’okuduka mu FDC.
Twogedeko nayogerera akakiiko k’ebyokulonda Jotham Taremwa naagamba nti bakyagenda mu maaso n’okwetegereza ebiwandiiko by’omukulu ono, kale nga akadde konna bakuwereza okukakasa okusembayo.