Skip to content Skip to footer

Abayingiza mu ddwaliro ebbidduka baakuwoozebwa

Bya Barbra Nalweyiso

 

 

 

 

Aba bodaboda e Mityana bawakanyiza enkola y’okujibwangako sente buli lwebayingira mu dwaliro ekkulu e Mityana.

Bano bagamba nti buli kiduka kyona ekiyingira mu dwaliro lino kisolezebwako sente za uganda 1500 nga ziriko ne receipt kyebagamba nti tekibayisiza bulungi atenga tebandiyagade kukomya balwade ku kubo.

Yuda Muwonge  sentebe wa bodaboda mu Busimbi Division agamba nti sente zino zandijidwangako abo boka ababa bagaala parkig.

Wabula yye Vicent Kawooya akulira edwaliro lino  agamba nti sente zino zatekebwayo olw’obubbi bwapikipiki ku dwaliro lino buyitiridde.

Leave a comment

0.0/5