Bya Ivan Ssenabulya
Omubaka wa munispaali ye Mukno Betty Nambooze ategeezezza ngensimbi ezimujanjaba mu India bwezimuwedeko, kalenga yeetaga obuyambi obulala okumujanjaba enkizi.
Ekiwandiiko ekituweereddwa okuva mu office ya Nambooze kiraze ngomubaka budget bwemugezeeko, okusinziira aku nsimbi ezaali zibalirirddwa.
Abakaulu abaddukanya emirimu gya Nambooze bagamba nti parliament mpaawo kasimbi keyabasindikidde okubataasa mu mbeera omubaka gyalimu, wabula ga tebanatuuka kussa ely’okuyita banna-Uganda okusonda.
Omubaka Nambooze ono yalongoosebwa omulundi ogw’okubiri, wiiki ewedde nayenga embeea egenda erongooka, waddenga tekinamanyika lwanakomawo.