Bya Julius Ocungi.
Abantu 33 okuli n’ababaka ba parliament abavunanibwa omusango gw’okulya munsi olukwe , olunaku olwaleero basuubirwa okuddamu okulabikako eri kooti etuula e Gulu.
Abamu kubabaka abali mu musango guno kuliko owa Kyadondo East Robert Kyagulanyi , Kassiano Wadri, owa Arua Municipality, Gerald Karuhanga, Paul Mwiru n’abalala
Kati bano bagenda kulabikako mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka e Gulu Isaac Imram Kintu.
Obujulizi obuli mu kooti eno bulaga nti bano nga 13 August bwebaali bagenze okunoonya akalulu mu Arua baakuba emotoka y’omukulembeze we gwanga amayinja ekikolwa eky’enkanankana n’okulya munsi olukwe.