Bya Samuel Ssebuliba.
Ekitongole ekidukanya ekibuga ekya KCCA kitabukidde banabyabufuzi nga kigamba nti bano bebalemesezza kawefube w’okuyonja ekibuga, okukana nga ebirwadde nga Cholera birumbye abantu.
Bino bigidde mukadde nga ekirwadde kino kyakalumba abantu wano e Rubaga 12 bebalwadde, wabula nga babiri kubano bamaze okukakasibwa nti cholera yaabaluma.
Bwabadde ayogerera mu parliament akawungezi akayise, minister omubeezi owa kampala Benny Namugwanya yagambye nti abakulembeze abalonde bafuuse bazibu mu kulemese entekateeka za Kampala gamba nga ez’okuyoola kasasiro, okugogola emyaala, kko n’okusengula abali mu bifo ebikyamu naddala eby’entobazzi.
Wabula kino omubaka w’amambuka ga Rubaga Moses kasibante akiwakanyiza nga agamba nti bino minisita byayogera kwekwasa kubanga bbo benyini bebaasulawo obuvunanyizibwa bwabwe obw’okuyonja Kampala.