Bya Samuel Ssebuliba.
Government ya Uganda esabiddwa okutandika okukolagana obulungi n’ebibiina by’obwanakyewa, okusobola okuletawo enkulakulana eyanamaddala mu gwanga.
Bino bigidde mukadde nga ebibina by’obwanakyewa bingi bikaaba olw’okumalibwako edembe ly’okwogera, kko n’okukola emirimo gyabyo.
Kati okumalawo embiranye eno, Nation media group wesinzidde okutekateeka ensisinkano y’abakulira ebibiina by’obwanakyeewa okusala entoto kubutya bwebayinza okumalawo emitawaana gino, songa mungeri yeemu bakulaga butya bwebayinza okukwatagana ne government okukuza egwanga.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire akulira ba kitunzi wano ku Nation media group Sam Barata agambye nti ebibiina bino byamugaso nyo mukuletawo enkulakulana, wabula mpaawo avaayo kubatenda okujako okubakolokota.