Skip to content Skip to footer

Emiti mu kampala gitandise okukeewa.

Bya Ben Jumbe.

Abakulu mu Kampala bategeezeza nga okweyongera kw’abantu mu Kampala bwekuvirideko obutonde bwensi okukosebwa, era nga kaakano kizibu okulaba ku kiragala.

Bino byogeddwa lord Mayor Erias Lukwago bwabadde ayogerera mu lukungana olw’okubala emiti olubadde wano mu Kampala.

Ono agambye nti okubala okwakolebwa kwalaga nga Kampala bwerina emiti 53,000, nga gino giri mubika 328.

Okubala kuno kwakolebwa e Kololo, Makerere, Mulago ne Nakasero.

Ono agambye nti kati kyazaako kwekutandika okusimba emiti mu Kampala mwonna, era nga kino kitandika  na sabiiti ejja.

 

Leave a comment

0.0/5