Skip to content Skip to footer

Amasomero agatalina bisanyizo gakuggalwa.

Bya Tom Angulin.

Ekitongole ekya KCCA kitegeezeza nga bwekigenda okutandika okulambula  amagomblola gonna aga Kampala nga kikebera amasomero gonna okukakasa oba galina ebisaanyizo ebikuuma abaana be gwanga.

Bino bigidde mukadde nga omuliro ogwamaanyi gwakalwata ebisulo by’abaana ku somero elya St Bernard S.S Rakai abaana 9 bamale bafe

Bwabadde atongooza enkola eno olunaku lwajjo , omubaka wa president mu kitundu kye Nakawa Herbert Burora  agambye nti mukawefube ono amasomero gonna agatalina bisaanyizo gakugalwa mbagalilawo.

Ono agamba nti ebimu ku bisanyizo kwebatadde omulaka kuliko kabuyonjo, ebizikiza omuliro, ebisulo byabayizi ebitegeke obulungi ko n’ebirara.

Leave a comment

0.0/5