Skip to content Skip to footer

Omusajja anyodde mukyalawe ensingo.

Bya Magembe Ssabiiti.

Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Kentomi mu gombolola ye Kibalinga mu district ye Mubende omusajja bwakidde mukazi we namutta oluvanyuma lw’okufuna obutakanya.

Kabagambe James yakidde mukaziwe Peace Kabagambe gw’alinamu abaana n’amunyoola ensingo mu kiro ekikesezza leero.

Abatuuze bagamba nti kino kivudde ku ttamiro eribadde lisusse bafumbo bano.

Omwogezi wa police atwala Wamala Region Ochom Norbert akakasizza nga police bwekute Kabagambe abayambeko mu kunonyereza ku nfa ya mukyala we.

Leave a comment

0.0/5