Waliwo munnakibiina kya NRM okuva mu disitulikiti ye Lwengo eyesimbye mu yali omubaka wa Bukoto mu bukiikaddyo,Haji Muyanja Mbabali ng’ayagala agaanibwe okwesimbawo kubanga talina buyigirize bumala
Kinajjukirwa nti ne mu mwaka gwa 2011, Mbabali yagaanibwa okwesimbawo lwabutaba na bisanyizo byebimu.
Ng’ayita mu bannamateeka be aba Ssewankambo and Company advocates, Posiano Matovo agambye nti amaze okuwandikira abakulira yunivasite ye Makerere ne Pentecostal university e Fort Portal banyonyole obutuufu bw’empapula Mbabaali z’agamba nti yafuna
Matovu agamba nti Muyanja singa anakkirizibwa okwesimbawo wakuttattana ekitiibwa kya NRM.
Wabula ye Mbabali azze akyogera lunnye nti alina empapula z’obuyigirize era buli wabadde atambula ng’ayita ne bulifukeesi erimu empapula ze okukakasa nti yaddayo okusoma.
