Bya shamim Nateebwa.
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga avumiridde eky’omukulembeze we gwanga Yoweri kaguta Museveni okutandika okutisatiisa abantu abawakanya eky’okukyusa mu teeka ly’ebyeta.
Kinajukirwa nti gyebuvudeko bweyali asomesa abantu obulungi bw’okukiriza government okukozesa etaka ly’omuntu nga temaze nakumuliyirira, president yagamba nti abawakanya enkola eno agenda kubakangavula kubanga bawudiisa egwanga.
Kati ono agamba nti president akirize buli alina endowoozaye agitegeeze banna-Uganda sosi kubavuvuba.