Skip to content Skip to footer

Katikiro asiimye abatona eri kabaka munkola eya ”Luwalo lwaffe”

Bya samuel ssebuliba .

Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asiimye abaganda ku mitendera gyonna abafudeyo okutuukiriza enkola eya luwalo lwaffe.

Bwabadde ayogerera mu lutula lwa Buganda olw’omulundi ogw’okubiri mu mwaka guno ogwa 25 , katikiro agambye nti amasaza, kko n’emiruka mingi gijumbidde okuuwaayo eri obuganda mungeri eyakyeyagalire, kyagambye nti eno yenkola egwana.

Ono agambye nti abaganda bonna bagwana bakimanye nti balina obuvunanyizibwa okukuuma kko n’okuvugirira Namulondo nga batoola kukatono kebalina okudiza ku mutanda.

Leave a comment

0.0/5