Bya Ivan Ssenabulya
Obwakabaka bwa Buganda buvudeyo okulabula Parliament nga bwetwagwana kupapa kukyusa mu ssemateeka wa uganda nga bajja ekomo ku myaka gyomukulemeneze we gwanga okujjako nga bamaze kwebuza kubanna- uganda.
Kuno okulabulwa kukoleddwa Katikiro wa Buganda owek.Charles Peter Mayiga era munamateeka omutendeke bwabadde ayogerera mu lukiiko lwa Buganda olutudde amakya ga leero mu bulange mengo.
Ono agamba nti ssemateeka lyeteeka ekulu elya uganda yonna, kale okwekiriranya nga likyusibwa tekigwana.