Bya Damalie Mukhay.
Banakibiina kya FDC bategeezeza nga bwebaganda okutukiza enkola ey’okusabira egwanga buli lwakubiri nga beegayirira omutonzi ataase egwanga okuva mu mikono gyabo abaagala okukwata ku ssemateeka.
Amyuka omwogezi wa FDC Paul Mwiru agambye nti ekigenda mu maaso mutawaana munene ogugudde eri egwanga,kale nga gwetaga kusabira
Ono agambye nti ku nsonga eno tebeetaga lukusa lwa Police, kubanga bagenda kusabira munda mu kitebe kyabwe.