Bya Abubaker Kirunda.
Police mu gomboolola ye Buyengo wano e Jinja ekutte omukazi wa myaka 24 nga ono alangibwa gwakubba mwana wa myezi mukaaga.
Omukwate ategerekese nga Justine Nabirye omuyizi we Buyengo.
Akulira police yeeno Joseph Ojuka agambye nti ono Police egenze okutuuka nga abatuuze bagenda kumutta
Kati ono akadde konna wakutwalibwa mumbuga z’amateeka abitebye.