Bya samuel sebuliba
Mu Kenya ebibiina ebirwanirizi by’edembe ly’obuntu bifulumizza alipoota nga eno eraze nga Police bweyakatta abantu abasoba mu 33 okuviira dala mu kulonda kwa nga 8th August.
Alipoota eno ekoleddwa ebibiina okubadde Amnesty International ne Human Rights Watch eraze nga abantu bwebazze battibwa , nga abasinga kubano beebo abateberezebwa okuwakanya government efuga.
Ekiwandiiko kino eky’eamiko 37 kiraze nga ebitundu ebizze bikosebwa bwekuli ekya Mathare, Kibera, Babadogo, Dandora, nebirara
Yye ssabapolice we gwanga lino Joseph Boinnet ebyogerwa abiwakanyizza.