Bya Ritah Kemigisa.
Tukitegedeko nga Offices z’ekibiina ekya Human Rights Awareness and Promotion Forum wano e Namirembe bwezirumbiddwa abantu abatanamanyika nebatuusa obuvune kubakuumi, wabula mpaawo kyebabye.
Okusinziira ku amyuka akulira ekitongole kino Anthony Mutimba abakuumi 2 ababadewo balumziddwa era nga kaakano banyiga biwundu wali e Nsambya.
Mutimba agamba nti ekigendererwa ky’abantu bano tekinamanyika , kubanga eby’omugaso byonna mpaawo kyebabye .
Ono agamba nti guno sigwemulundi ogusoose bano okumenya office z’ekibiina kino, era nga omulundi ogwasooka baliko ebiwandiiko byebabba mu office y’akulira ekibiina kino.
Mukaseera kano police etuse okwetegereze embeera.