Bya samuel ssebuliba.
Ababaka ba parliament eya East African abava mu uganda bakubaganye empawa ku ky’okukiriza egwanga lya Somalia okwegatta ku mukago guno.
Kinajukirwa nti abakulembeze b’amawanga gano bwebanaaba bali mu tabamiruka agenda okutuula wano 28th basubirwa okutesa ku nsonga eno oba enaasoboka.
Kati twogedeko n’omubaka okuli Susan Nakawuki, nagamba nti kino singa kikolebwa kyakukiriza abatujju okusala amangu okujja okukola obulabe mu mawanga gannamukago, kale bano tebagwana kwesembereza.
Wabula ye munne Fred Mukasa Mbidde bino abiwakanyizza nga agamba nti nakakano abantu bano beetaya mu mawanga gannamukago, kale nga okubagatta ku mukago kyakuyamba okubalondoola.