Bya Ruth Anderah.
Olunaku olwaleero minister akola ku bigwa tebiraze Hillary Onek agenda kulabikako mu kakiiko akakola ku mivuyo gy’etaka yewozeeko kubigambibwa nti aludde ebanga nga atisatiisa okutuusa obulabe ku eyali ssabaminister wa tooro Steven Irumba, nga ensonga zeekusa ku nkayana za taaka.
Onek okuyitibwa kyadiridde Irumba okutegeeza akakiiko nti nga 7th –july 2018 minister ono yamulumba namutisatiisa okumutuusako obulabe , nga agamba nti yeefudde omulabe we gwanga.
Bino byonna okutandika kyadirira Irumba okuwakanya ekya government okutwala etakalye eriwereza dala yiika 200 nga lino lyatekebwako bannayuganda abaagobwa mu Tanzania.