Skip to content Skip to footer

Omubaka Abiriga asasudde engasi ya mitwalo 4 obutasibwa

Bya Ruth Anderah

Omubaka wa muniapaali eye Arua Ibrahim Abiriga kooti emusingisiza omusango ogw’okufuuka ekyeneena n’ajamawa ekibuga, bwatyo n’alagirwa okusasula engasi ya kooti ya mitwalo gya ssilingi 4.

Abiriga amakya ga leero yeerese mu kooti ya city hall ebadde ekubirizibwa omulamuzi we ddaala erisooka, Beatrice kainza n’amusomera omusango, gwokumala gafuyisa.

Omulamuzi awuliririza okusaba kwa Abiriga bwamutegeezeza nti mukade atenga mulwadde wa sukali, nga yegaga kusonyibwa.

Okusinziira ku ludda oluwaabi, Abiriga nga 26 September yalabwako ngafuyisa ku kikomera kya ministry yebyensimbi ekimenya amateeka.

Abiriga awereddwa ekibonrezo okuwa engasi eno oba okusibwa wiiki bbiri mu kkomera e Luzira, nasalwo okusasula engaso era nafuluma okulya butaala.

Leave a comment

0.0/5