Bya Sam Ssebuliba
Poliisi esabye omubaka wa Kyaddondo East Omuggya Robert kyagulanyi amanyiddwa enyo nga Bobi Wine okugikwatizaako mu kulwanyisa obumenyi bw’amateeka mu kitundu kye.
Kino kiddiridde abavubuka bangi okumuyiira obululu nga 29 June Wiiki ewedde .
Kati bw’abadde ayogerako eri bannamawulire olwaleero, omwogezi wa poliisi mu ggwanga Asan Kasigye ategezezza nga abavubuka bangi bwebakkiririza mu Bobiwine sso nga bebasinga okusongebwamu olunwe lw’okuzza emisango kale nga asobola okubabuulirira okuva ku mize gino.
Mungeri yeemu poliisi etegezezza nga abantu 27 bwebaakwatibwa mu kalulu ka Kyaddondo East akaaliko n’obugombe nga era essaawa yonna bano baakutwalibwa mu mbuga z’amateeka.