Bya Damali Mukhaye
Minisita y’ebyenjigiriza ebisookerwako alabudde abakulu b’amassomero abagaoba abayizi fiizi mu kiseera ky’okubawandiisa okugenda mu maaso.
Minisita Rosemary Sseninde agamba abamu ku bakulu bano bakozesa akakisa k’okuwandiisa okugenda mu maaso nebagoba abayizi nti atamalayo teri kumuwandiisa.
Anyonyola nti okuwandiisa kuno tekukwatagana na bya fiizi kubanga bbo baagala kumanya bayizi bameka abali mu massomero basobole okubateekeratekera obulungi.
Anyonyodde nti era ebbaluwa y’ekyalo ssibyebimu ku byetagisa okuwandiisa abaana bano nga betaaga ndagamuntu ya muzadde enjokyemu.