Bya Opio Sam Caleb ne Ivan Ssenabulya
Poliisi ye Kamuli etandise okunonyereza ku butemu obwakoleddwa ku muyizi, eyatibwa nomulambo gwe nebagusuula mu ssamba lyebikajjo.
Taweka Tapenesi nga wamyaka 17 abadde asoma S4 nga muyizi ku ssomero lya Mustard Seed SS e Busota, wabula abatuuze be Bulegeya e Namisambya bagudde ku mulambo nga basoose kutebereza, nti mbwa yeyafiira mu kitundu okusinziira ku kivundu kyebawulidde.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga North Michael Kasadha akaksizza ettemu lino.
Agambye nti waliwo okutebereza nti omugenzi bazooka kumusobyako, noluvanyuma nebamutta.
Ate poliisi e Kapchorwa enononyereza ku butemu obwakoleddwa ku musomesa, gwebatemako omutwe mu gandaalo lya pasiika.
Omugenzi ye Nabukwasi Allen ngabadde musomesa ku ssomero lya Hamukulu P/S, wabula omulambo gwazulibwa nga gwazikibwa mu ttaka nga tekuli mutwe.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu bitundu bye Sipi Rogers Taitika, nomutwe gwazuliddwa, nga gubadde gwazikibwa mu ttaka mu kitundu ekyesuddeko okuva awabadde ekiwuduwudu.
Kati agambye nti bakutte abantu 4 okuli ne bba womugenzi Chepukul Jackson, bayambeko mu kunonyereza.