Bya Ritah Kemigisa
Omubaka wa gavumenti mu district ye Koboko Isaaca Kawooya, afiriidde mun kabenje n’abantu abalala 6 ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka.
Akolanga omuddumizi wa poliisi y’ebidduka mu kitundu kya Katonga Joseph Musana, atugambye nti akabenje kano kagudde mu kitoogo e Mpambire, ekyesudde okuva mu Kabuga ke Mpigi.
Eno mmotoka kika kya Premio namba UAZ 471/D etomereganye ne lukululana namba TZ. C881 DNG mu budde bw’okumakya.
Ku bafudde poliisi egamba nti kubaddeko ne munansi wa Rwanda ow’emyaka Mukakamali Anaspasie owemyaka 66, Christine Arihizira owemyaka 25, Abudallah Muwonge owa 54, Ssemanda Mansoor wa myaka 55 nga kubaddeko nomwana omuto ow’emyaka 5.
Musana ategezezza ng’akabenje bwekandiba nga kavudde ku luguudo oluserera, wakatyi mu nkuba ebadde etonnya.