Skip to content Skip to footer

Kondakita asindikidwa mu nkomyo lwa kusobya ku muwala

Bya Ruth Anderah

Kondakita wa Taxi avunanidwa n’asindiikibwa mu kkomera e Luzira  ku bigambibwa nti yasoobya ku musaabaze.

Rogers Nzaala yavunanidwa mu masso g’omulamuzi w’eddaala erisooka ku kooti ya City Hall, Valerian Tuhimbise n’atamukkiriza kw’ewozaako olw’ensonga nti omusango gweyaza guwulirwa kkooti nkulu yokka.

Oludda oluwaabi lugamba nti 10th April 2019 e Butikirwa ekisangibwa mu Nakawa ku njegoyego z’ekibuga kampala, Nzaala kigambibwa yakaka akaboozi omusaabazewe.

Wakudda mu kkooti nga May 14th nga n’okunonyereza bwe kugendamu maaso.

 

Leave a comment

0.0/5