Omukuumi owa kkampuni ya Delta agambibwa okutta omusajja eyali ku gigye asibiddwa emyaka 20
Akwatiddwa ye Jonathan Byamukama nga yatta Umar Lubwama gweyasanga ng’akuuma abaali bazimba acarde ya Nalubwama
Omusajja ono okutta munne basoooka kufuna butakkaanya.
Oludda oluwaabi lugamba nti omukuumi ono emisnago yagizza mu December w’omwaka gwa 2012 ku Nalubwama Plaza.
Omulamuzi wa kkooti enkulu Elizabeth Alvidiza omukuumi amuwadde emyaka 20 ng’agamba nti alina abaana abato ate nga y’abalabirira yekka